text
stringlengths 0
2.73k
|
---|
abasoggola emmere baakedde kwekweka tufumbe akanyaala kano anti mulyabuto |
ako akafulaano kaleete nkozeeko ndaba kagubaasidde |
atayagala kuyiga yekotoggera yekka nze mbagambye mweweeyo |
bano abatalya kyetutumula b'awa |
bwolinda okuzaala ng'okaddiye otawaana nyo anti oba owedde kumpagala |
egyo emyango wagibazze mu muti ki |
emisizi gyange gyonna nnagitunze mpone okuyombagana n'ababbi |
emiti ginnansangwa gyonna giweddewo ensangi zino tusimba migwiira |
eno etonnye olukeremette eneetuganya okukola olwaleero |
mu nsiko eyo oyiseemu otya mu ttuntu lino weesiga ki |
mwanawange njuna ekibanyi kyange kiyiise kyetaaga kuddaabiriza |
okuyamba ateyamba kuba kuteganira bwemage |
omukulu yatusabye tuyambagane era n'okwagalana |
owange omukolo gwokwalula abaana gw'agenze gutya |
oyo bw'omuleka awo yekka agenda kw'onoona ebintu mutwale |
yanguwa ogende musabe ku kasengejja nga tannaggalawo |
ab'oluganda abo tebateNGNGana oba bagoba kaki ennaku zino |
abaana baaluno temuli nsa anti laba bali bwe babuzeeko katono okuyita obuswa |
abaana bange temubaterekedde ku bumba nga babadde balyesunga |
ababazzi bakoowa naye tebakira bazimbi |
abamu gyebeekokkolera enkuba okutonnya olutata bbo abalimi bazina gunteese |
abange eryo sikkonkome eyo mba lasaasa mugitte tebabojja |
abange mwanguwe tulye nga bukyalaba anti amafuta gawedde mu ttaala zonna |
abange eyabadde ayokya ggonja yabivuddeko nzize mweyongere |
abantubalamu magoma gaavugira aliwo abo bagendeko mpola |
abao baveeko tebaagalira ddala kuziikirako banaabwe |
abasajja abasalamala bakirako bavubi tebalwa mu kitundu |
abo banno boolaba ba lubojje bulala ensiko kyevudde eduumuuka bwetyo |
abo tobesaako balina ekibayinula |
abo tobeteekako b'ategeka dda ennimiro zaabwe balinda nsigo |
akasaka ako bakatuwonyezza mbu mubaddemu owe kalungu |
akatogo kano kawooma naye omwana yakalunze mmula kabuze kata kanneme |
amata g'embuzi teganyweeka naye abo abaana kwebafiira |
amatu g'omwana oyo gaamagalala nga agakamyu anti mulengere |
amazzi ago muganaabe nteekeko aga kitamwe |
ani y'abawadde akatiba kange |
ani yasibye ente ku ttale nataginyweza anti yiiyo ekitudde |
atasobola kwetikka tangoberera asigale nze sitambula nabanafu |
ate oli atambula ekisezesezi olabye ki |
awali akakka kali k'olengera wewali ekijjukizo kyabazira anti tewaggwa bantu |
ba nnyabo eryo ekkubo lyazibwa muyite mu lino temugwa mu kateebe |
ba ssebo ani amanyi e katereke ewa byuma antwalireyo ekitereke kino |
baaba olengera omuwafu guli emmanga awo weewaziikwa lunkulubuse |
baakugambye obatwalire embazzi ne nnajjolo ebyo |
baani abavumye abayizi nga batabuse |
bagamba mbu ekyamugobya gyeyali kubaamu by akalogokalenzi |
bali abasimbudde mu ttuntu lino ani abagobye |
bambi musaasire okukeerewa akagaali ke kaakutuse amayembe |
bannange munsaasireko anti kojjange oli omudingidi lwatutte |
bano abaana baawano bakyali mugga |
bano abaana emiyembe bagimazeeko na nkonyogo omuti mukalu |
batugambye nti teyalwadde yafudde kibwatukira |
batugambye nti okuziika kwa nkya kwekusalawo tugende ddala e nkya |
bino ebisasiro lwaki temubiggyawo ne mubitwala mu lusuku |
bobadde oyagala baenze kwewandiisa |
buli atatya musajjamunne abaako nekyanoonya mwenno musaage |
buli bbaggiro litekeddwa okuba eriyonjo obukyafu ndwadde njereere |
buli obukoko nga bukuungiriza bulabye ki |
bw'oba ogenda kukoola bijanjaalo twala kano akasimu |
bw'oba osigula endu sigula ku kiri ekya ngwabuzito |
bw'oba oyagala lujjo genda wa ssenga y'atera okutwazika |
bw'olaba asirise munnange omunyooma naye yatuzimudde yeyakoze amagero ago |
bw'olimba n'olimba weekanga naawe weerimbye |
bw'oyitiriza okwewola wandiremwa okusasula amabanja agamu weegendereze |
bwanaanika ekkanzu eyo eya kkaniki ofaananira ddala kitaawo |
bwe weggama enkuba totya kutoba |
bweyayiinze ennyonta n'enjala wamma yabuzeeko katono agwe kawansazi |
bwoba ogenda ku kibuga ntwaliraayo ebirango bino |
bwoba onoogenda nnaffe olina kukeera |
bwoba owezezza ensimbi zeyakusaba ate olinda ki okuzimutwalira |
bwoba oyagala oyo akuliire ku mmere togeza n'osiika enva ezo |
bwolaba olunywankoko ngomanya yatonnye |
bwolabanga ebinyonyi ebyo ebiyitibwa ebirinzi ng'omanya enseenene zigobye |
bwosanga NGNGenze ttonenya ndi kubwangu |
bwoteetegula bayomba naawe bandikutwaliramu gwenno ddaawo |
bwotova wano ojja kutuleetera emirerembe balo omumanyi tanywa guteeka |
bwowulira nga nkubagulizaako ng'omanya kabwejumbira agguse |
e ddambwe wewaali omusawuzi aloga eddalu yeyavumula ne byabali |
ebiro bino nkumu balya ekibu kimu kyokka |
ebya kuno tojja kubisobola anti buli omu alimirira munno |
eddiba eryo mulibaambire wali awagazi |
eggulo twasanze erye kalungu ku luzzi netufubutuka buli omu yakutte lirye |
ekiri ewaffe tekirojjeka ate abaana ba zibuda tebaziikudde kitaabuwe e batunde ettaka |
ekisanirizo bwekiba kibuze ezo enviiri zitwale zisalweko |
embuzi zo zoombi zazaadde obubuzi bubiri bubiri olaba bwoyazizza ekisibo amangu |
emitala wali ewa musenzemuggya tewaggwa miranga oba kiki |
emiti gyamuwogo egyo gitwale ogisimbe ku lusalosalo |
emmwanyi ezo zeetaaga kuwagulira ndaba zisaakaatidde nyo |
empaka ezo zeegeendereze zirikukubya agakonde kati obadde owakana ki |
empaka z'okuvuga obugaali zawanguddwa mutabani wa kirebe |
endegeya ezaalinga wano zaasenguka nga siwulirayo kanyego |
engeri gy'okooye otyo lwaki tosoose kufuna kozza eri mumwa |
enkima kyezaakoze obusooli bwo tekyogerekeka |
enkuba yonna yatugwereddeko tuli ku kifugi |
enkya tugenda kutaandika kukungula kasooli owe ngulu ku lusozi |
ennaku zino bwotaba na nsimbi zaabuliwo teri okuwa kikye |
enva zonna omwana aziyiiye tuwonye kumwokya |
era ddala obuteeraba bubi ddamazo y'ani avuma banne embaliga |
ettendekero lyaffe lye twazimba litandika mwezi gujja okuyigiriza |
eyo enju yabulwa agisulamu oba abantu bagityako ki |
End of preview. Expand
in Dataset Viewer.
README.md exists but content is empty.
- Downloads last month
- 35